2 Chronicles 23:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewaba omulala yenna ayingira mu Kiggwa ky'Omukama, okuggyako bakabona n'Abaleevi abali ku luwalo. Bo bayinza okuyingira, kubanga bo batukuze. Abantu abalala bonna bagoberere Omukama kye yakuutira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewabanga n’omu ayingira mu yeekaalu ya Mukama wabula bakabona, n’Abaleevi abanaabeeranga mu luwalo; abo banaayingiranga kubanga batukuvu, naye abantu abalala bonna banaagobereranga ekyo Mukama kye yalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewaabenga muntu yenna ayingira mu nnyumba ya Mukama, okuggyako bakabona n'Abaleevi abanaabeeranga ku luwalo, abo banaayingiranga, kubanga batukuvu: naye abantu abalala bonna bakwate ekiragiro kya Mukama, basigale ebweru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waleme kubaawo muntu n'omu ayingira mu Ssinzizo, okuggyako bakabona n'Abaleevi abali ku gw'okuweereza. Abo bayinza okuyingira, kubanga batukuziddwa. Naye abantu abalala bonna bakwate ekiragiro kya Mukama, basigale ebweru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye walemenga okubaawo anaayingira mu nnyumba ya Mukama wabula bakabona n'abo ab'oku Baleevi abaweereza; abo banaayingiranga, kubanga batukuvu: naye abantu bonna banaakwatanga okukuuma kwa Mukama.