2 Chronicles 23:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi ba kwebungulula kabaka buli omu ng'alina ebyokulwanyisa bye. Bwe wabaawo omulala yenna ayingira Ekiggwa, attibwa buttibwa. Mubeere ne kabaka wonna w'anaalaga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaleevi banaayimiriranga okwetooloola kabaka, buli omu ku bo ng’akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, na buli anaayingiranga mu yeekaalu wa kuttibwa. Mubeere kumpi nnyo ne kabaka, buli gy’anaalaganga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Abaleevi banaayimiriranga nga beebunguludde kabaka, buli muntu ng'akutte eby'okulwanyisa bye, na buli anaayingiranga mu Yeekaalu wa kuttibwanga. Mubeere kumpi nnyo ne kabaka, buli gy'anaagendanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi banaayimirira nga beebunguludde kabaka, buli omu ng'akutte ebyokulwanyisa bye. Buli anaayingira mu Ssinzizo wa kuttibwa. Munaabeera wamu ne kabaka ng'ayingira era ng'afuluma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Abaleevi baneetooloolanga kabaka enjuyi zonna, buli muntu ng'akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe; n'oyo anaayingiranga mu nnyumba attibwe: era mubenga ne kabaka bw'anaafulumanga era bw'anaayingiranga.