2 Chronicles 23:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi n'abantu bonna aba Yuda ne bakola byonna nga Yoyada kabona bwe yali abalagidde; buli omu n'atwala basajja be, abaali batandika oluwalo lwabwe ku Sabbaato wamu n'abo abaali bamaliriza olwabwe ku olwo, kubanga Yoyada kabona yali talina kibinja ky'atadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaleevi n’abantu bonna aba Yuda ne bakola nga Yekoyaada kabona bwe yalagira. Buli omu ku bo n’atwala abasajja be, abo abaali mu luwalo ku Ssabbiiti, wamu n’abo abaali bamaliriza olwabwe, kubanga Yekoyaada kabona yali tannabagaba mu mpalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abaleevi na bantu ba Yuda bonna, ne bakola nga Yekoyaada kabona bwe yabalagira. Buli muduumizi n'atwala basajja be abaali bayingira okukola, wamu n'abo abaali bannyuka ku Ssabbiiti, kubanga Yekoyaada kabona teyasiibula baali bamaze oluwalo lwabwe ku Ssabbiiti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi n'Abayudaaya bonna ne bakola nga Yehoyaada kabona bwe yabalagira. Buli muduumizi n'atwala basajja be abaali bayingira okukola, wamu n'abo abaali bannyuka ku Sabbaato, kubanga Yehoyaada kabona teyasiibula bitongole by'abo abamazeeko empalo zaabwe ku Sabbaato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abaleevi ne Yuda yenna ne bakola nga bwe biri Yekoyaada kabona by'alagidde: ne batwala buli muntu abasajja be, ab'okuyingira ku ssabbiiti wamu n'ab'okufuluma ku ssabbiiti; kubanga Yekoyaada kabona teyasiibula mpalo.