2 Chronicles 23:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagabe b'ebikumi n'abawa amafumu n'engabo ennene n'entono ebyabanga ebya kabaka Dawudi ebyabanga mu Kiggwa kya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’awa abaduumizi ab’ekikumi amafumu, n’engabo ennene, n’engabo entono, ebyali ebya Kabaka Dawudi, ebyabeeranga mu yeekaalu ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekoyaada kabona n'awa abaduumizi ab'ekikumi, amafumu, engabo ennene n'entono, ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehoyaada kabona n'awa abaduumizi b'abaserikale ekikumi kikumi, amafumu n'engabo ennene n'entono, ebyali ebya Kabaka Dawudi, ebyali mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyaada kabona n'awa abaami b'ebikumi amafumu n'obugabo n'engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Katonda.