2 Chronicles 24:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowasi yafuuka kabaka nga wa myaka musanvu; yafugira emyaka amakumi ana mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Zibiya ng'ava Beeriseba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaasi yalina emyaka musanvu we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi n’erinnya lya nnyina ye yali Zebbiya ow’e Beeruseba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaasi yali wa myaka musanvu we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka ana (40) mu Yerusaalemi. Nnyina Zebbiya ow'e Beeruseba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaasi yali wa myaka musanvu we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Zibiya ow'e Beruseba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yowaasi yali yaakamaze emyaka musanvu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow'e Beeruseba.