2 Chronicles 24:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi bwe baaleetanga ssanduuku eri omukungu wa kabaka ne musangibwamu ssente nnyingi, omuwandiisi wa kabaka n'oyo eyabanga atumiddwa kabona nga bajja nga ssanduuku bagibundula ate ne bagizzaayo mu kifo kyayo. Baakolanga batyo bulijjo, ne bakuŋŋaanya ssente nnyingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli essanduuko bwe yaleetebwanga Abaleevi eri abakungu ba kabaka ne balaba ng’erimu sente nnyingi, omuwandiisi wa kabaka n’omukungu wa kabona asinga obukulu, baagitwalanga ne baziggyamu, ne bagikomyawo mu kifo kyayo. Kino baakikolanga buli lunaku, era ne bakuŋŋaanya ensimbi nnyingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Abaleevi buli lwebaleetanga essanduuko ewa kabaka okukebera ekirimu, ne basanga ng'erimu effeeza nnyingi, awo omuwandiisi wa kabaka n'omuweereza wa kabona omukulu bajjanga ne baziggyamu, bwe bamalanga nga bagizzayo mu kifo kyayo. Bwe batyo bwe baakolanga buli lunaku, ne bakungaanya effeeza nnyingi nnnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abaleevi buli lwe baaleetanga essanduuko ewa kabaka okukebera ekirimu, ne basanga ng'erimu ensimbi nnyingi, omuwandiisi wa kabaka, n'omuweereza wa ssaabakabona bajjanga ne baziggyamu, essanduuko ne bagitwala, ne bagizza mu kifo kyayo. Baakolanga bwe batyo buli lunaku. Bwe batyo ne bakuŋŋaanya ensimbi nnyingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu kiseera ekyo lwe baaleetanga essanduuko mu nju kabaka w'ateeseza ebigambo mu mukono gw'Abaleevi, era bwe baalaba nga mulimu ebintu bingi, awo omuwandiisi wa kabaka n'omuweereza wa kabona omukulu ne bajja ne baggyamu ebintu mu ssanduuko, ne bagitwala ne bagizza mu kifo kyayo. Bwe batyo bwe baakolanga buli lunaku, ne basolooza ebintu bingi nnyo.