2 Chronicles 24:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo kabaka ne Yoyada ne baziwa abaali bakulira omulimu gw'Ekiggwa ky'Omukama. Nabo baaziddiranga ne bapangisa abakozi, abakomozi b'amayinja n'ababazzi baddaabirize Ekiggwa ky'Omukama. Era baapangisanga n'abaweesi b'ekyuma n'ekikomo Ekiggwa ky'Omukama kizzibwewo buggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka ne Yekoyaada ne bazikwasa abo abaavunaanyizibwanga omulimu gwa yeekaalu ya Mukama, bo ne bapangisa abaagula amayinja n’ababazzi okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, n’abalala baali baweesi ba byuma n’ebikomo era nabo nga baakuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka ne Yekoyaada ne bazikwasa abo abaavunaanyizibwanga omulimu gw'okuddaabirizanga ennyumba ya Mukama, bo be balagaananga n'abaasi ba amayinja, n'ababazzi n'abaweesi b'ebyuma n'ab'ebikomo, okuddaabiriza ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka ne Yehoyaada ensimbi baazikwasanga abo abalabirira omulimu gw'okuddaabiriza Essinzizo. Bo ne balagaana n'abasazi b'amayinja, n'ababazzi, n'abaweesa ebyuma n'ekikomo, okuddaabiriza Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka ne Yekoyaada ne bagiwa abo abaakolanga omulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama; ne bagulirira ab'amayinja n'ababazzi okuddaabiriza ennyumba ya Mukama era n'abaweesi b'ebyuma n'ab'ebikomo okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.