2 Chronicles 24:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakozi ne bakola na maanyi, omulimu ne bagukola bulungi, ne bazzaawo Ekiggwa ky'Omukama nga bwe kyali kifaanana mu kusooka, ne bakinyweza n'okukinyweza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja abaavunaanyizibwanga omulimu ogwo baali banyiikivu, era n’omulimu ogwo gwali mu mikono gyabwe, era ne baddaabiriza yeekaalu ya Katonda okutuuka ku mutindo gwayo ogugisaanira, ne baginyweza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakozi abo ne bakola omulimu n'amaanyi, ne baddaabiriza ennyumba ya Katonda nga bwe kyagwanira, ne baginyweza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakozi ne bakola n'amaanyi, ne baddaabiriza Essinzizo, ne balizzaayo mu mbeera yaalyo entuufu, ne balinyweza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abakozi ne bakola omulimu ne bakamala, ne basimba ennyumba ya Katonda nga bwe kyagwanira, ne baginyweza.
Recommended Reading