2 Chronicles 24:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamaliriza ebyo, ssente ezaafikkawo ne bazireetera kabaka ne Yoyada, ne zikozesebwa okukola ebyeyambisibwa mu kuweereza mu Kiggwa ky'Omukama: eby'okukozesa mu kwegayirira ne mu kuweereza ebitambiro ebyokye, ebijiiko, n'ebintu n'ebirala byonna ebya zaabu ne ffeeza. Ebitambiro ebyokye byaweerezebwanga mu nnyumba y'Omukama awatali kusalawo ebbanga lyonna Yoyada ng'akyaliwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baamaliriza, ensimbi ezafikkawo ne bazikomyawo ewa kabaka ne Yekoyaada, ate ezo ne zikozesebwa okukola ebintu eby’omu yeekaalu ya Mukama, eby’obuweereza n’eby’ebiweebwayo ebyokebwa, ne bbakuli ez’obubaane, n’ebibya ebya zaabu ne ffeeza. Era ne baweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama ennaku zonna eza Yekoyaada.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baamaliririza omulimu effeeza eyasigalawo ne bagireetera kabaka ne Yekoyaada. Ate bo ne bazigulamu ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama: ebijiiko n'ebintu ebya zaabu ne ffeeza, Ne bawangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama buli lunaku ennaku zonna eza Yekoyaada.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamaliriza omulimu, ensimbi ezaasigalawo ne bazireetera kabaka ne Yehoyaada. Bo ne bazigulamu ebintu eby'omu Ssinzizo, ebikozesebwa nga basinza era nga bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa. Ne bagulamu n'ensaniya ezinyookerezebwako obubaane, era n'ebintu ebirala ebya zaabu ne ffeeza. Ebbanga lyonna Yehoyaada lye yamala nga mulamu, tebaayosanga kuwaayo mu Ssinzizo biweebwayo ebyokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baamalira ddala, ne baleeta ebintu ebyafikkawo mu maaso ga kabaka ne Yekoyaada, ne babikoza ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama, ebintu ebiweereza era eby'okuwongeramu, n'ebijiiko, n'ebintu ebya zaabu ne ffeeza. Ne bawangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama obutayosanga ennaku zonna eza Yekoyaada.