2 Chronicles 24:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyada bwe yamala okufa, abakungu ba Yuda ne bajja ne balanya ewa kabaka, naye n'abawuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyaada ng’amaze okufa, abakungu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka, n’abawuliriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma Yekoyaada ng'afudde, abakungu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka. Awo kabaka n'abawuliriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyaada bwe yamala okufa, abakungu mu Buyudaaya ne bajja ne bavuunamira kabaka. Awo kabaka n'awuliriza bye bamugamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma Yekoyaada ng'afudde abakulu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka. Awo kabaka n'abawulira.