2 Chronicles 24:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baaleka Ekiggwa ky'Omukama Katonda wa bajjajjaabwe, ne badda ku kuweereza empagi za Asera n'ebifaananyi bya balubaale. Obusungu bw'Omukama ne busitukira ku Yuda ne ku Yeruzaalemu olw'emisango gyabwe egyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baleka yeekaalu ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n’ebifaananyi, obusungu bwa Katonda kyebwava bubuubuukira ku Yuda ne Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne balekayo okusinzizanga mu ennyumba ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, ne basinzanga Asera, n'ebifaananyi. Olwo kusobya kwabwe okwo Katonda n'asunguwalira abantu ba Yuda na b'omu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne balekayo okusinzizanga mu Ssinzizo lya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, ne basinzanga lubaale Asera n'ebifaananyi. Olw'omusango gwabwe ogwo, Katonda n'asunguwalira Buyudaaya ne Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balekanga ennyumba ya Mukama Katonda: wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n'ebifaananyi: obusungu ne bujja ku Yuda ne ku Yerusaalemi olw'omusango gwabwe ogwo.