2 Chronicles 24:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yabasindikiranga abalanzi babakomyewo gy'ali; baabalaganga ensobi zaabwe, naye era tebaabawuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga Mukama yabatumira bannabbi okubakomyawo gy’ali, ne babalumiriza, tebassaayo mwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'abaweerezanga bannabbi okubakomyawo gy'ali, ne babalabulanga, naye bo nga tebasaayo mwoyo, ne ba tawulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'abaweereza abalanzi okubakomyawo gy'ali. Ne babalabula, naye bo ne batafaayo
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye n'abatumiranga bannabbi okubakomyawo eri Mukama; ne babanga bajulirwa eri bo: naye ne bataganyanga kutega matu.