2 Chronicles 24:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwoyo w'Omukama n'ajja ku Zakariya mutabani wa Yoyada kabona. Zakariya n'ayimirira mu maaso g'abantu n'abagamba nti: “Kino Katonda ky'agamba: ‘Lwaki mumenya ebiragiro by'Omukama? Ebintu tebijja kubalamira. Kubanga mwabulidde Omukama, naye abaabulidde.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Zekkaliya muzzukulu wa Yekoyaada, n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Katonda nti, ‘Lwaki mujeemera amateeka ga Mukama? Temujja kufuna mukisa kukulaakulana. Kubanga muvudde ku Mukama naye kyavudde abaleka.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Zekkaliya, mutabani wa Yekoyaada kabona, n'ayimirira abantu we bayinza okumulabira n'abagamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Katonda nti, lwaki mumenya ebiragiro bya Mukama, n'emwereetera emitawaana? Temuyinza kulaba mukisa. kubanga mwaleka Mukama, naye kyavudde abaleka mmwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mwoyo wa Katonda n'ajja ku Zekariya, mutabani wa Yehoyaada kabona. Zekariya n'ayimirira abantu we bayinza okumulabira n'abagamba nti: “Katonda agamba nti: ‘Lwaki mumenya ebiragiro bya Mukama, ne mwereetera emitawaana?’ Mukama abavuddeko, kubanga nammwe mumuvuddeko.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Zekkaliya, mutabani wa Yekoyaada kabona; n'ayimirira wagguluko awali abantu n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Katonda nti Musobezanga ki ebiragiro bya Mukama n'okuyinza ne mutayinza kulaba mukisa? kubanga mwaleka Mukama, era naye kyavudde abaleka mmwe.