2 Chronicles 24:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ne bamwekobera, kabaka n'alagira ne bamukuba amayinja awo mu luggya lw'Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne basala olukwe okutta Zekkaliya, kabaka n’alagira n’akubibwa amayinja, n’afiira mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne bamwekobaanira, era ku kiragiro kya kabaka ne bamukubira amayinja mu luggya lw'ennyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bo ne bamwekobera era nga bakolera ku kiragiro kya kabaka, ne bamukubira amayinja mu luggya lw'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamwekobaana era olw'ekiragiro kya kabaka ne bamukubira amayinja mu luggya olw'oku nnyumba ya Mukama.