2 Chronicles 24:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Yowasi teyajjukira kisa Yoyada kitaawe wa Zakariya kye yali amugiridde, n'atta mutabani we. Bwe yali afa n'agamba nti: “Omukama alabe asalewo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Yowaasi n’atajjukira kisa Yekoyaada kitaawe wa Zekkaliya kye yamulaga, n’atta mutabani we. Zekkaliya bwe yali ng’afa n’ayogera nti, “ Mukama kino akirabe, era akuvunaane.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo kabaka Yowaasi n'atajjukira kisa ekyamukolerwa Yekoyaada kitaawe wa Zekkaliya, naye n'atta mutabani we. Awo Zekkaliya bwe yali ali kumpi okufa n'agamba nti, “Mukama akitunuulire, akubonereze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Kabaka Yowaasi ne yeerabira eby'ekisa, Yehoyaada kitaawe wa Zekariya bye yamukolera, n'atta mutabani we. Zekariya bwe yali ng'anaatera okufa, n'agamba nti: “Mukama akitunuulire, awoolere eggwanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Yowaasi kabaka n'atajjukira kisa kye yakolwa Yekoyaada kitaawe, naye n'atta mutabani we. Awo bwe yali ali kumpi okufa n'ayogera nti Mukama akitunuulire akivunaane.