2 Chronicles 24:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'omwaka gutandika, eggye lya Aramu ne lirumba Yowasi. Lyazinda Yuda ne Yeruzaalemu, ne basaanyaawo abakulembeze b'abantu bonna. Omunyago gwonna ne baguweereza kabaka mu Damasiko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku nkomerero ey’omwaka, eggye ery’Abasuuli ne lirumba Yowaasi. Ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi ne bazikiriza abakungu bonna, ne baweereza omunyago gwonna eri kabaka waabwe e Ddamasiko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku nkomerero y'omwaka, eggye ery'Abasuuli ne lirumba Yowaasi, okumutabaala: ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi ne batta abakungu bonna ab'abantu okubamalirawo ddala. Ebintu byonna bye banyaga ne babiweereza ewa kabaka w'e Ddamasiko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku nkomerero y'omwaka, ab'eggye ly'Abassiriya ne balumba Yowaasi. Ne bajja mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, ne batta abakulembeze bonna ab'abantu, okubamalirawo ddala. Ebintu byonna bye baanyaga ne babiweereza ewa kabaka w'e Damasiko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka omwaka bwe gwayitawo eggye ery'Abasuuli ne limutabaala: ne bajja eri Yuda ne Yerusaalemi ne bazikiriza abakulu bonna ab'abantu okubamalawo mu bantu, ne baweereza omunyago gwabwe gwonna eri kabaka w'e Ddamasiko.