2 Chronicles 24:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaaramu okugenda, baamuleka n'obuvune obw'amaanyi. Abaweereza be ne bamwekobera okuwoolera omusaayi gwa mutabani wa Yoyada kabona, ne bamuttira mu kitanda kye, n'afa. Ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi, naye si mu biggya bya bakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abasuuli bwe baavaayo, ne baleka nga Yowaasi alumizibbwa nnyo, era abaddu be ne bamusalira olukwe, olw’omusaayi gw’abaana ba Yekoyaada kabona, gwe yayiwa, ne bamuttira mu kitanda kye. Bwe yafa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abasuuli bwe baavaayo, baleka Yowaasi alumizibwa nnyo olw'ebiwundu bye yafuna, abaddu be ne bamwekobaanira olw'omusaayi gwa batabani ba Yekoyaada kabona, ne bamuttira mu kitanda kye. Ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye ne batamuziika mu masiro ga bassekabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abassiriya bwe baamuvaako nga balese afumitiddwa ebiwundu eby'amaanyi, abaweereza be bennyini ne bamukolera olukwe, ne bamutemulira mu kitanda kye. Kino baakikola nga bawoolera eggwanga, kubanga Yowaasi yali asse mutabani wa Yehoyaada kabona. Bw'atyo Yowaasi n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, wabula nga si mu masiro ga bassekabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baamuvaako (kubanga baamuleka obulwadde nga bumukutte nnyo) abaddu be ye ne bamwekobaana olw'omusaayi gwa batabani ba Yekoyaada kabona, ne bamuttira ku kitanda kye n'afa: ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye ne batamuziika mu masiro ga bassekabaka: