2 Chronicles 24:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaamwekobera ye Zabadi mutabani wa Simewati omukazi Omwammoni, ne Yozabadi mutabani wa Simuriti omukazi Omumowabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaamusalira olukwe baali Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bano be baakola olukwe okumutta: Zabadi, mutabani wa Simeyaasi, omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi, mutabani wa Simulisi, omukazi Omumowaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaakola olukwe okumutta, baali Zabadi, mutabani w'omukazi Omwammoni ayitibwa Simayaati, ne Yehozabaadi, mutabani w'omukazi Omumowaabu ayitibwa Simuriti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bano be baamwekobaana; Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu.