2 Chronicles 24:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebifa ku batabani be, omusolo ogwamubinikibwa, n'omulimu gwe ogw'okuddaabiriza Ekiggwa kya Katonda, byawandiikibwa mu kitabo Ennyinyonnyola y'Ekitabo kya Bakabaka. Amaziya mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebikwata ku batabani be, n’ebyamulagulwako, n’eby’okuddaabiriza kwa yeekaalu ya Katonda, byawandiikibwa mu ngero ez’ekitabo ekya bassekabaka. Amaziya mutabani we n’amusikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyafaayo ebikwata ku batabani ba Yowaasi, ne bizibu bannabbi bye balanga ku ye, n'eby'okuddabiriza ennyumba ya Katonda, byonna byawandiikibwa mu binnyonnyola Ekitabo kya Bassekabaka. Amaziya mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebifa ku batabani ba Yowaasi, n'ebizibu abalanzi bye baalanga ku ye, n'okuzimba obuggya Essinzizo, byawandiikibwa mu kitabo ekinnyonnyola ebya Bassekabaka. Mutabani we Amaziya ye yamusikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebya batabani be n'emigugu egyamuteekebwako bwe gyali emikulu n'okuzimba nate ennyumba ya Katonda, laba, byawandiikibwa mu bitegeeza eby'ekitabo kya bassekabaka. Amaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.