2 Chronicles 24:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakuŋŋaanya bakabona n'Abaleevi, n'abagamba nti: “Mugende mu bibuga byonna ebya Yuda musolooze ku Yisirayeli yenna ssente ze balina okuwa buli mwaka okuddaabiriza Ekiggwa kya Katonda wammwe. Mukikole mangu nno.” Naye Abaleevi tebaayanguyirawo kukikola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayita bakabona n’Abaleevi, n’abagamba nti, “Mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ensimbi eza buli mwaka okuva mu Isirayiri yenna, olw’okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, era mutandikirewo.” Naye Abaleevi ne batakikolerawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akuŋŋaanya bakabona n'Abaleevi, n'abagamba nti, “Mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ku ba Isiraeri bonna, buli mwaka, effeeza ey'okuddaabiriza ennyumba ya Katonda wammwe, era mutandikirewo.” Naye Abaleevi ne balwawo okukikola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akuŋŋaanya bakabona n'Abaleevi n'abagamba nti: “Mugende mu bibuga bya Buyudaaya, musolooze ku Bayisirayeli bonna ensimbi ez'okuddaabirizanga buli mwaka Essinzizo lya Katonda wammwe. Era ekyo mukikole mangu.” Kyokka Abaleevi ne balwawo okukikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akuŋŋaanya bakabona n'Abaleevi, n'abagamba nti Mufulume mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ku Isiraeri yenna ffeeza ey'okuddaabiriza ennyumba ya Katonda wammwe buli mwaka, era temulema kwanguya ekigambo ekyo. Era naye Abaleevi ne batakyanguya.