2 Chronicles 24:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'ayita Yoyada kabona n'amugamba nti: “Lwaki tewafaayo kukubiriza Baleevi kusolooza mu Yuda na mu Yeruzaalemu musolo, Musa omuweereza w'Omukama n'ekibiina kya Yisirayeli gwe bassaawo olwa Weema y'Endagaano?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’atumya Yekoyaada kabona asinga obukulu, n’amubuuza nti, “Kiki ekyakulobera okugamba Abaleevi, n’ekibiina kya Isirayiri ku lw’eweema ey’Obujulirwa, okuva eri Yuda ne Yerusaalemi okuleetanga omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'ayita Yekoyaada kabona omukulu waabwe, n'amubuuza nti, “Lwaki tewasalira Abaleevi okuleetanga omusolo okuva mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Musa omuddu wa Mukama gwe yalagira ekibiina kya Isiraeri okuwanga, olw'okulabiriranga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'ayita Yehoyaada omukulu waabwe, n'amugamba nti: “Lwaki tewasalira Baleevi kuleetanga musolo okuva mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, Musa omuweereza wa Katonda gwe yalagira ekibiina ky'Abayisirayeli okuguwanga, olw'okulabiriranga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n’ayita Yekoyaada omukulu n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okusalira Abaleevi okuleetanga omusolo gwa Musa omuddu wa Mukama olw'eweema ey'obujulirwa nga bagusolooza ku Yuda ne ku Yerusaalemi ne ku kibiina kya Isiraeri?