2 Chronicles 24:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekirangiriro ne kiyita wonna mu Yuda n'e Yeruzaalemu buli omu aleetere Omukama omusolo, Musa omuweereza w'Omukama gwe yassa ku Yisirayeli ng'ali mu ddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiragiro ne kiyita mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi yonna, okuleeteranga Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira Isirayiri nga bali mu ddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiragiro ne kiyita mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi yonna, abantu okuleeta eri Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira aba Isiraeri nga bali mu ddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne balangirira mu Buyudaaya bwonna ne mu Yerusaalemu, abantu bonna okuleeta eri Mukama omusolo, Musa omuweereza wa Katonda gwe yagerekera Abayisirayeli nga bali mu ddungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balangira mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi okuleetera Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yateeka ku Isiraeri mu ddungu.