2 Chronicles 25:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaziya yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu etaano; yafugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yeruzaalemu. Nnyina yali ayitibwa Yowaddini, ng'asibuka Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaziya yalina emyaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekoyadaani ow’e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaziya yali wa myaka abiri mu etaano (25) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka abiri mu mwenda (29) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Yekoyadaani ow'e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaziya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda. Nnyina yali Yehoyaddini ow'e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaziya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: n'erinnya lya nnyina lyali Yekoyadaani ow'e Yerusaalemi.