2 Chronicles 25:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaziya n'asiibula eggye eryali limwegasseeko nga liva mu Efurayimu, n'abagamba badde ewaabwe. Obusungu bwabwe ne bweserera nnyo ku Yuda, ne baddayo ewaabwe ng'obusungu bubeesera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Amaziya n’alagira eggye eryali lizze gy’ali okuva mu Efulayimu okuddayo ewaabwe waalyo. Ne banyiigira nnyo Yuda, era ne baddayo ewaabwe nga banyiize nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Amaziya n'alagira eggye eryali lizze gy'ali okuva mu Efulayimu, okuddayo ewaabwe. Nebasunguwalira nnyo aba Yuda, ne baddayo ewaabwe nga baliko ekiruyi kingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Amaziya n'ayawulamu ab'eggye eryali lizze gy'ali nga livudde mu Efurayimu, n'abasiibula okuddayo ewaabwe. Ne basunguwalira nnyo ab'omu Buyudaaya, ne baddayo ewaabwe nga baliko ekiruyi kingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Amaziya n'abaawulamu, eggye eryali lizze gy'ali nga livudde mu Efulayimu, okuddayo ewaabwe: obusungu bwabwe kyebwava bubuubuuka ennyo eri Yuda, ne baddayo ewaabwe nga baliko ekiruyi kingi.