2 Chronicles 25:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaziya ne yeekemba, n'atwala eggye lye mu Kiwonvu eky'Omunnyo, eyo nattirayo abantu b'e Seyiri mutwalo mulamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaziya ne yeefungiza, n’akulembera abantu be, n’agenda mu kiwonvu eky’omunnyo n’atta abasajja omutwalo gumu ab’e Seyiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Amaziya n'aguma omwoyo n'alumba n'abantu be, n'agenda mu kiwonvu eky'omunnyo, n'atta ku basserikale b'e Seyiri omutwalo gumu (10,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Amaziya n'aguma omwoyo, n'akulembera abantu be, n'agenda mu kiwonvu eky'Omunnyo, n'atta abaserikale b'e Seyiri omutwalo gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Amaziya n'aguma omwoyo n'atabaaza abantu be n'agenda mu kiwonvu eky'omunnyo n'atta ku baana ab'oku Seyiri kakumi.