2 Chronicles 25:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggye ly'abantu ba Yuda ne liwamba abasajja abalala omutwalo gumu, ne babatwala ku ntikko y'olwazi olumu ne babasindika wansi, bonna ne basesegguka obulele.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eggye lya Yuda ne liwamba n’abasajja abalala omutwalo gumu nga balamu, ne babatwala waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbangabanga, ne basesebbuka ebifiififi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eggye lya Yuda ne bawamba n'abasajja abalala omutwalo gumu (10,000), ne babatwala waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku eyo ku lwazi, bonna ne bamenyekemenyeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayudaaya ne bawamba n'abalala omutwalo gumu, ne babatwala waggulu ku ntikko y'olusozi, ne babasukkiza wansi, bonna ne babetenteka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Yuda ne bawamba ne batwala kakumi abalala, ne babaleeta waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbanga ly'olwazi, n'okumenyeka ne bamenyeka.