2 Chronicles 25:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lyo eggye Amaziya lye yali asiibudde lireme kugenda naye mu lutalo, ne lizinda ebibuga bya Yuda okuva ku Samariya okutuuka e Beti-Koroni, ne litta abantu enkumi ssatu, ne litwala n'omunyago munene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye eggye liri Amaziya lye yasindika okuddayo, n’ataliganya kugenda naye mu lutalo; lyalumba ebibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne litta abantu enkumi ssatu ku bo, era ne litwala n’omunyago mungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abasajja ab'omu ggye, Amaziya n'abagaana okugenda naye mu lutalo, ne balumba ebibuga bya Yuda, okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne battamu enkumi ssatu (3,000), ne batwala omunyago mungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abasajja ab'omu ggye, Amaziya be yazzaayo n'abagaana okugenda naye mu lutalo, ne balumba ebibuga bya Buyudaaya, okuva e Samariya okutuuka e Beti Horoni, ne battamu abantu enkumi ssatu, ne batwala omunyago mungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abasajja ab'omu ggye Amaziya lye yazzaayo baleme okutabaala naye, ne bagwa ku bibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne battamu enkumi ssatu, ne banyaga omunyago mungi.