2 Chronicles 25:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaziya bwe yadda ng'ava okusanjaga Abeedomu, n'aleeta balubaale ba bantu b'e Seyiri; yabafuula balubaale be, n'abavunnamiranga, n'abanyookezanga n'obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Amaziya bwe yakomawo ng’amaze okutta Abayedomu, n’aleeta bakatonda b’abantu ab’e Seyiri, n’abassaawo nga bakatonda be, n’abasinzanga, era n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Amaziya bwe yakomawo ng'amaze okutta Abaedomu, n'aleeta bakatonda b'abantu ab'e Seyiri, n'abassaawo okuba bakatonda be, n'abavuunamira, era n'abootereza obubaane.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaziya bwe yakomawo ng'amaze okutta Abeedomu, n'aleeta balubaale b'abantu abo, ab'e Seyiri, n'abateekawo okuba balubaale be, n'abavuunamira, era n'abootereza obubaane.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Amaziya bwe yakomawo ng'asse Abaedomu, n'aleeta bakatonda b'abaana ab'oku Seyiri, n'abasimba okuba bakatonda be, n'avuunama mu maaso gaabwe n'abootereza obubaane.