2 Chronicles 25:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Amaziya, n'amutumira omulanzi eyamugamba nti: “Lwaki onoonya balubaale b'abantu bano abataasobola kuwonya ggwanga lyabwe mu mikono gyo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuukira ku Amaziya, n’amuweereza nnabbi, eyamutegeeza nti, “Lwaki ogoberera bakatonda b’abantu, abataayinza kulokola bantu baabwe mu mukono gwo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyeyava asunguwalira Amaziya, n'amutumira nnabbi eya mubuuza nti, “ Lwaki osinza bakatonda b'abantu, abataawonya bantu baabwe bo mu mukono gwo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama kyeyava asunguwalira Amaziya, n'amutumira omulanzi. Omulanzi n'amugamba nti: “Lwaki osinzizza balubaale b'abantu, abataasobola kutaasa bantu baabwe kubaggya mu mikono gyo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka ku Amaziya, n'amutumira nnabbi n'amugamba nti Wagenderanga ki eri bakatonda b'abantu abataawonya bantu baabwe bo mu mukono gwo?