2 Chronicles 25:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aba akyayogera ebyo, Amaziya n'amwanukula nti: “Twakufuula mubuulirizi wa kabaka? Sirika! Onoonya kufa?” Omulanzi n'asirika, oluvannyuma n'agamba nti: “Mmanyi nti Katonda ateesezza okukutta, kubanga okoze ekyo n'otowuliriza kye nkubuulirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe yali ng’akyayogera, kabaka n’amubuuza nti, “Twali tukulonze okuba omuwi wa magezi owa kabaka? Sirika! Lwaki onoonya okuttibwa?” Awo nnabbi nga tannasirika, n’ayogera kino nti, “Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga tossizaayo mwoyo ku kubuulirira kwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka bwe yali ng'akyayogera, kabaka n'amubuuza nti, “ Twali tukulonze okuwanga kabaka amagezi? Oba tonoonya kuttibwa, sirika.” Nnabbi n'asirika, naye ng'amaze okumugamba nti, “ Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga okoze ekyo, ate n'otowuliriza magezi ge nkuwadde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bwe yali ng'akyayogera, kabaka n'amugamba nti: “Twali tukulonze okuwanga kabaka amagezi? Oba tonoonya kuttibwa, sirika.” Omulanzi n'asirika, wabula ng'amaze kumugamba nti: “Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga okoze ekyo, era n'otowuliriza magezi ge nkuwadde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yali ng'ayogera naye kabaka n'amugamba nti Twali tukuyingizizza ggwe mu bateesa ne kabaka? lekera awo; wandikubiddwa lwa ki? Awo nnabbi n'alekera awo n'ayogera nti Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza kubanga wakola ekyo n'otowulira kuteesa kwange.