2 Chronicles 25:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Amaziya ng'amaze okwebuuza ku bawi b'amagezi, n'atuma ewa Yowasi mutabani wa Yowakazi, mutabani wa Yewu kabaka wa Yisirayeli, ng'agamba nti: “Jjangu tugasimbagane.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Amaziya kabaka wa Yuda ne yeebuuza ku bawi b’amagezi be, n’aweereza obubaka eri Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Jjangu tusisinkane amaaso n’amaaso.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Amaziya, kabaka wa Yuda, bwe yamala okwebuuza ku bawi b'amagezi be, n'atumira Yowaasi, mutabani wa Yekoyakaazi, era muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isiraeri, ng'agamba nti, “ Jjangu tulabagane maaso n'amaaso.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Amaziya kabaka wa Buyudaaya bwe yamala okuteesa n'abo abamuwa amagezi, n'atumira Yowaasi mutabani wa Yehoyahaazi, era muzzukulu wa Yehu kabaka wa Yisirayeli, ng'agamba nti: “Jjangu twolekagane maaso na maaso.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Amaziya, kabaka wa Yuda, n'ateesa ebigambo n'atumira Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Jjangu tulabagane n'amaaso.