2 Chronicles 25:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'addamu Amaziya kabaka wa Yuda nti: “Ettovu ly'oku Lebanoni lyatuma eri entolookyo y'oku Lebanoni ne ligamba nti: ‘Muwala wo muwe mutabani wange abeere mukazi we.’ Ne wabaawo ekisolo eky'ettale ekyayitawo ne kirinnyirira ettovu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda bw’ati nti, “Omwennyango ogwali mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule ogwali mu Lebanooni, nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo eri mutabani wange, amufumbirwe,’ naye ensolo ey’omu nsiko eyali mu Lebanooni, ng’eyitawo, n’erinnyirira omwennyango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yowaasi, kabaka wa Isiraeri, n'addamu Amaziya, kabaka wa Yuda, bw'ati nti, “Omwennyango ogwali ku Lebanooni gwatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gugamba nti, ‘Waayo muwalawo eri mutabani wange, amufumbirwe.’ Naye ensolo ey'omu nsiko eyali ku Lebanooni bwe yali eyitawo n'erinnyirira omwennyango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaasi kabaka wa Yisirayeli n'atumira Amaziya kabaka wa Buyudaaya ng'agamba nti: “Omwennyango ogwali ku lusozi Lebanooni gwatumira omuvule era ogwali eyo, nga gugamba nti: ‘Mutabani wange muwe muwala wo amuwase.’ Ensolo ey'omu ttale ey'oku Lebanooni bwe yali eyitawo, n'erinnyirira omwennyango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'atumira Amaziya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Omwennyango ogwali ku Lebanooni gwatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gwogera nti Wa muwala wo mutabani wange amufumbirwe: awo ensolo ey'omu nsiko eyali ku Lebanooni n'eyitawo n'erinnyirira omwennyango.

Recommended Reading