2 Chronicles 25:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muli ogamba: ‘Laba mpangudde Edomu!’ omutima gwo kwe kwetumbula ne weekuza. Weesigalire mu nnyumba yo. Lwaki weewakulira emitawaana, ogwe ne Yuda naye agwe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaana nga bw’owangudde Edomu, era omutima gwo gujjudde okwegulumiza n’okwenyumiriza. Naye sigala ewuwo. Lwaki onoonya emitawaana, ne weeretera okugwa, ggwe ne Yuda?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wewaana nti owangudde Edomu, n'omutima gwo gujjudde okwegulumiza, n'okwenyumiriza. Kale beera ewuwo. Lwaki wereteera emitawaana egy'okukuzikiriza ggwe ne Yuda yonna?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano ogamba nti: ‘Laba, mpangudde Abeedomu!’ Ekyo ne kikuleetera okwewaga n'okwegulumiza. Kale beera ewuwo. Lwaki weetakulira emitawaana egy'okukuzikiriza ggwe ne Buyudaaya yonna?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyogera nti Laba, okubye Edomu; n'omutima gwo gukugulumizizza okwenyumiriza: obeere nno eka; lwaki okweyingiza mu bitali bibyo n'ofiirwa, n'ogwa, ggwe ne Yuda wamu naawe?