2 Chronicles 25:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Amaziya teyawuliriza, kubanga Omukama yali akitegese bw'atyo, abaweeyo mu mikono gy'abalabe, kubanga baali banoonya balubaale ba Edomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Amaziya n’atawuliriza, kubanga okuwangulwa abalabe baabwe kwava eri Katonda, kubanga bava ku Katonda waabwe ne banoonya bakatonda ba Edomu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Amaziya n'agaana okuwuliriza, kubanga kyava eri Katonda abaweeyo bawangulwe abalabe baabwe, kubanga baasinza bakatonda ba Edomu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Amaziya n'agaana okuwuliriza, kubanga Katonda yayagala okubawaayo bawangulwe abalabe baabwe, kubanga baasinza balubaale ba Edomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Amaziya n'atakkiriza kuwulira; kubanga kyava eri Katonda abagabule mu mukono gw'abalabe baabwe, kubanga baanoonyanga bakatonda ba Edomu.

Recommended Reading