2 Chronicles 25:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli n'akola olulumba. Ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne bambalaganira e Beti-Semesi ekya Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’alumba, ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne basisinkana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaasi, kabaka wa Isiraeri, n'alumba, ye ne Amaziya, kabaka wa Yuda, ne basisinkana maaso n'amaaso e Besusemesi ekya Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaasi kabaka wa Yisirayeli n'alumba. Ye ne Amaziya kabaka wa Buyudaaya, ne boolekagana maaso na maaso e Betisemesi ekya Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'atabaala; ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne balabaganira n'amaaso e Besusemesi ekya Yuda.