2 Chronicles 25:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'awamba Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowasi, mutabani wa Akaziya, e Beti-Semesi, n'amuleeta mu Yeruzaalemu. N'amenya bbugwe wa Yeruzaalemu okuva ku Mulyango Efurayimu okutuuka ku Mulyango gw'Ensonda, obuwanvu bwa mikono ebikumi bina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi, muzzukulu wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n’amuleeta e Yerusaalemi. Yowaasi n’amenyaamenya n’ekitundu ekya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku Mulyango ogw’oku Nsonda, eyali mita kikumi mu kinaana obuwanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'awamba Amaziya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Yowaasi, muzzukulu wa Yekoyakaazi, e Besusemesi, n'amuleeta e Yerusaalemi, n'amenyaamenya ekitundu kya bbugwe wa Yerusaalemi, okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda, emikono bina (400).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaasi kabaka wa Yisirayeli n'awamba Amaziya kabaka wa Buyudaaya, mutabani wa Yowaasi era muzzukulu wa Ahaaziya. Yamuwambira Betisemesi, n'amuleeta e Yerusaalemu. Yowaasi n'amenyaamenya ekigo kya Yerusaalemu, okuva ku Mulyango gwa Efurayimu, okutuuka ku Mulyango ogw'oku Nsonda, bwe buwanvu bwa mita ng'ebikumi bibiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n'amuleeta e Yerusaalemi n'amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda, emikono ebikumi bina.