2 Chronicles 25:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atwala zaabu yenna ne ffeeza n'ebintu byonna ebyasangibwa mu Kiggwa ky'Omukama ebyali bikuumibwa Obedi-Edomu, wamu n'ebyali mu nkuluze ya kabaka n'abawambe, n'addayo mu Samariya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atwala ezaabu n’effeeza yonna, n’ebintu ebirala byonna ebyali mu yeekaalu ya Katonda ebyali bikuumibwa Obededomu, wamu n’eby’obugagga eby’omu lubiri, n’abawambe, n’addayo e Samaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'anyaga ezaabu n'effeeza yonna n'ebintu byonna bye yasanga mu nnyumba ya Katonda nga bikuumibwa Obededomu, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, n'abasibe, n'addayo e Samaliya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'anyaga zaabu ne ffeeza yenna era n'ebintu byonna bye yasanga mu Ssinzizo, nga bikuumibwa Obededomu. N'anyaga n'ebyobugagga eby'omu lubiri lwa kabaka. N'atwala n'abasibe. N'addayo e Samariya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'anyaga ezaabu n'effeeza yonna n’ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya Katonda wamu ne Obededomu, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, era n'emisingo nabo, n'addayo e Samaliya