2 Chronicles 25:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Amaziya, okuva ku ntandikwa okutuuka gye bikoma, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda ne Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amaziya, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala byonna Amaziya bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Byafaayo bya Bassekabaka ba Buyudaaya n'aba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya, ebyasooka n'ebyamalirvvako, laba, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri?