2 Chronicles 25:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaziya ng'avudde ku Mukama, mu Yeruzaalemu baamukolera olukwe, ye n'addukira e Lakisi; naye baasindika abasajja ne bamuwondera ne bamuttira eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu kiseera, Amaziya lwe yakyuka okuva ku Mukama, baamusalira olukwe mu Yerusaalemi, n’addukira e Lakisi. Kyokka ne bamusindikira abasajja abaamugoberera okutuuka e Lakisi, era ne bamuttira eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaziya okuviira ddala lwe yakyuka n'ava ku Mukama, ne bakola olukwe mu Yerusaalemi okumutta, naye n'addukira e Lakisi. Naye ne bamusindikira abasajja abamuwondera okutuuka e Lakisi, ne bamuttirayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaziya okuviira ddala lwe yakyuka n'ava ku Mukama, ne bakola olukwe mu Yerusaalemu okumutta. N'addukira mu kibuga ky'e Lakisi. Naye ne baweereza ab'okumulondoola mu Lakisi, ne bamuttirayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era okuva mu biro Amaziya lwe yakyuka obutagoberera Mukama ne bamwekobaana mu Yerusaalemi; n'addukira e Lakisi naye ne batuma e Lakisi okumugoberera ne bamuttira eyo.