2 Chronicles 25:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwakabaka bwe bwamala okunywera mu mikono gye, n'atta mu bakungu be abo abaali basse kabaka kitaawe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obwakabaka bwe bwanywezebwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abatta kabaka kitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olw'amala okwenyweza ku bwakabaka, n'atta abaddu be abatta kabaka kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwamala okwenyweza ku bwakabaka, n'atta abaweereza be abatta kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka obwakabaka bwe bwanywezebwa gy'ali, n'alyoka atta abaddu be abatta kabaka kitaawe.