2 Chronicles 25:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kyokka batabani b'abatemu teyabatta, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'Etteeka lya Musa, Omukama w'aweerera ekiragiro nti: “Bakitaabwe ba baana si ba kuttibwanga olw'abaana baabwe, n'abaana si ba kuttibwanga olwa bakitaabwe; buli omu anaafanga lwa kibi kye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye n’atatta baana baabwe, wabula n’akola ng’etteeka mu kitabo kya Musa, Mukama we yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga olw’ekibi ky’abaana baabwe, so n’abaana tebattibwenga olw’ekibi ky’abazadde baabwe, naye buli muntu anaafanga olw’ekibi kye ye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'atatta baana baabwe, wabula n'akola nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ag'omu kitabo kya Musa, Mukama bwe yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga olw'ekibi ky'abaana baabwe, so n'abaana tebattibwenga olw'ekibi kya bazadde baabwe. Naye buli muntu anattibwanga olw'ekibi kye ye”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka n'atatta baana baabwe, wabula n'agoberera ekyo ekyawandiikibwa mu kitabo kya Musa, nga Mukama bwe yalagira nti: “Abazadde tebattibwenga olw'emisango gya baana baabwe, n'abaana tebattibwenga olw'emisango bazadde baabwe gye bazza. Omuntu anattibwanga lwa musango ye yennyini gwe yazza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'atatta baana baabwe, naye n'akola ng'ekyo bwe kiri ekyawandiikibwa mu mateeka ag'omu kitabo kya Musa nga Mukama bwe yalagira nti Kitaabwe talangibwanga gwa baana be okumutta, so n'abaana tebalangibwanga gwa bakitaabwe okubatta; naye buli muntu alangibwenga okwonoona kwe ye okumutta.