2 Chronicles 25:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaziya yakuŋŋaanya abantu ba Yuda n'agenda ng'abassa wansi w'abagabe b'enkumi n'ab'ebikumi ng'agoberera ennyumba za bajjajjaabwe, mu Yuda yenna ne mu Benyamiini. Yakunga n'abalala bonna abaali bawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, n'asangamu abavubuka obusiriivu busatu abatuuse okutabaala abasobola okukwata effumu n'engabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaziya n’akuŋŋaanya abasajja ba Yuda, n’abategeka mu nnyiriri z’ennyumba zaabwe, nga baduumirwa ab’enkumi n’ab’ebikumi mu Yuda yonna ne mu Benyamini. N’oluvannyuma n’abala abo abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo, ne baba abasajja emitwalo amakumi asatu, abaali basobola okugenda mu lutalo, era nga bayinza n’okukwata effumu n’ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaziya n'akuŋŋaanya abasajja ab'omu kika kya Yuda, n'ab'omu kika kya Benyamini, n'abateeka mu bibinja ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, nga bakulemberwa abaduumizi ab'enkumi n'ab'ebikumi. N'abala abo bonna abali bawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, ne baba basajja emitwalo asatu (300,000), abalondemu abayinza okugenda mu lutalo, abamanyirivu mu kulwanyisa amaffumu n'engabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaziya n'akuŋŋaanya abasajja ab'omu Buyudaaya, n'ategeka ab'omu kika kya Yuda n'ab'omu Benyamiini mu bibinja by'abaserikale, ng'asinziira ku nnyumba za bajjajjaabwe, nga bakulemberwa abaduumizi b'olukumi lukumi, n'ab'ekikumi kikumi. N'abala abo abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, n'asanga nga bawera abasajja emitwalo amakumi asatu, abalondemu abayinza okugenda mu lutalo, era abamanyirivu mu kulwanyisa amafumu n'engabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Amaziya n'akuŋŋaanya Yuda, n'abateekateeka ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali nga batwalibwa abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi, Yuda yenna ne Benyamini: n'ababala abaakamaze emyaka amakumu abiri n'okukirawo, n'abalaba nga basajja abalonde obusiriivu busatu, abaayinza okutabaala, abaayinza okukwata effumu n'engabo.