2 Chronicles 25:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omuntu wa Katonda n'ajja gy'ali n'amugamba nti: “Ayi kabaka, eggye erivudde mu Yisirayeli terigenda naawe, kubanga Omukama tali na Yisirayeli, tali n'omu mu bazzukulu ba Efurayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne wabaawo omusajja wa Katonda eyagenda gy’ali n’amugamba nti, “Ayi kabaka, tokkiriza eggye lya Isirayiri okugenda naawe, kubanga Mukama tali wamu ne Isirayiri, talina n’omu gwali naye ku bantu ba Efulayimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne wabaawo omusajja wa Katonda eyagenda gyali n'amugamba nti, “Ayi kabaka teweekolera n'ogenda n'eggye lya Isiraeri, kubanga Mukama tali wamu ne Isiraeri, tali wamu n'abantu bonna ab'Efulayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omuntu wa Katonda n'ajja, n'amugamba nti: “Ayi Kabaka, teweekolera n'ogenda n'eggye ly'Abayisirayeli, kubanga Mukama tali wamu nabo, era tali wamu na Beefurayimu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne wajja gy'ali omusajja wa Katonda ng'ayogera nti Ggwe kabaka, eggye lya Isiraeri lireme okugenda naawe; kubanga Mukama taliwamu ne Isiraeri, tali wamu n'abaana bonna aba Efulayimu.