2 Chronicles 25:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bw'onoolwana n'obuzira butya mu lutalo, Katonda ajja kukufeebya abalabe bakugobe, kubanga Katonda y'alina obuyinza okuwanguza oba okufeebya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate ne bw’onoogenda ng’olowooza nti oli muzira nnyo mu ntalo, Katonda alikuwaayo mu maaso g’omulabe, kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba, n’okulekerera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'onooyagala okugenda, ng'olowooza nti olwo lw'onobeera n'amaanyi mu lutalo, Katonda ajja kukumegga mu maaso g'abalabe, kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba n'okulekerera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bw'onooyagala okugenda, kikole olage amaanyi n'obuzira mu lutalo. Katonda ajja kukumegga mu maaso g'abalabe. Kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba omuntu n'awangula, era alina obuyinza okumuleka ne bamuwangula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'onooyagala okugenda, kola eby'obuzira, beera n'amaanyi olw'olutalo: Katonda alikumegga mu maaso g'abalabe; kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba n'okumegga.