2 Chronicles 25:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaziya n'abuuza omuntu wa Katonda nti: “Talenta ekikumi ze nawadde eggye lya Yisirayeli zinaaba zitya?” Omuntu wa Katonda n'amwanukula nti: “Omukama ayinza n'okukuwa ezisinga ezo obungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Amaziya n’abuuza omusajja wa Katonda nti, “Naye tunaakola tutya ku bya ttani esatu n’ebisatu byakuna ebya ffeeza ze nasasula eggye lya Isirayiri?” Omusajja wa Katonda n’addamu nti, “ Mukama ayinziza ddala okukuwa n’ebisinga ku ebyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Amaziya n'abuuza omusajja wa Katonda nti, “ Naye tunaakola tutya talanta ekikumi (100) ze mmaze okusasula eggye lya Isiraeri?” Omusajja wa Katonda n'addamu nti, “Mukama ayinza okukuwa ekisinga ennyo ku ekyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaziya n'agamba omuntu wa Katonda nti: “Naye tunaakola tutya talanta ekikumi ze mmaze okusasula eggye lya Yisirayeli?” Omuntu wa Katonda n'addamu nti: “Mukama ayinza okukuwa ekisinga ennyo ku ekyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Amaziya n'agamba omusajja wa Katonda nti Naye tunaakola tutya olwa talanta ekikumi ze mmaze okuwa eggye lya Isiraeri? Omusajja wa Katonda n'addamu nti Mukama ayinza okukuwa ebisinga ennyo ebyo.