2 Chronicles 26:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna aba Yuda ne baddira Wuzziya, eyali ow'emyaka ekkumi n'omukaaga, ne bamussa ku nnamulondo asikire Amaziya kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Uzziya bwe yali ng’aweza emyaka kkumi na mukaaga egy’obukulu, abantu bonna aba Yuda, ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe Amaziya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna aba Yuda ne baddira Uzziya eyali ow'emyaka ekkumi n'omukaaga (16) ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu bonna ab'omu Buyudaaya ne balonda Wuzziya ow'emyaka ekkumi n'omukaaga okusikira Amaziya kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna aba Yuda ne baddira Uzziya eyali yaakamaze emyaka ekkumi n'omukaaga ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya.