2 Chronicles 26:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yazimba eminaala mu ddungu, n'asima n'enzizi nnyingi kubanga yalina amagana mangi mu Sefela ne mu museetwe; mu nsozi yalinayo abalimi mu nnimiro ne mu mizabbibu, ne mu bitundu ebigimu; kubanga yayagalanga okulima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’azimba n’eminaala mu ddungu, ate era n’asima n’ebidiba bingi mu biwonvu ne mu lusenyi, olw’amaggana amanene ge yalina. Yalina n’abantu abaakolanga mu nnimiro ze ez’emizabbibu mu nsozi n’abaalimanga ettaka eggimu, kubanga yayagalanga nnyo okulima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azimba eminaala emirala mu ddungu n'asima ebidiba bingi, kubanga yalina ebisibo bingi mu biwonvu ne mu lusenyi. Era yalina abalimi n'abasalira emizabbibu ku nsozi ne mu nnimiro engimu, kubanga yayagala nnyo okulima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'azimba eminaala mu ddungu, n'asima n'enzizi nnyingi, kubanga yalina amagana mangi mu biwonvu ne mu nsenyi. Era yalina abalimi n'abasalira emizabbibu mu nsonzi ne mu nnimiro eŋŋimu, kubanga yayagalanga nnyo okulima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azimba ebigo mu ddungu n'abajja ebidiba bingi, kubanga yalina ebisibo bingi; ne mu biwonvu ne mu lusenyi: era yalina abalimi n'abalongoosa emizabbibu ku nsozi ne mu nnimiro engimu; kubanga yayagala nnyo okulima.