2 Chronicles 26:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuzziya yalina eggye ettendeke eriri obulindaala okugenda mu lutalo, nga liri mu bibinja, mu miwendo gyabyo nga Yeyeli omuwandiisi ne Maaseeya omwami bwe baali bakunze nga bakubirizibwa Ananiya omu mu baami ba kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Uzziya yalina eggye ery’abasajja abalwanyi abaatendekebwa obulungi, abaatabaalanga mu bibinja ng’emiwendo gyabwe bwe gyali, Yeyeri omuwandiisi gye yabala ne Maaseya omukungu, eyali wansi wa Kananiya, omu ku baduumizi b’eggye lya kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Uzziya yalina eggye ery'abasajja abalwanyi, abeetegese okulwana, nga bali mu bibinja, ababalibwa ne bawandiikibwa Yeyeeri omuwandiisi, ne Maaseya omukungu, nga balabirirwa Kananiya, omu ku baduumizi ba kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wuzziya era yalina eggye ly'abaserikale abeetegese okulwana olutalo mu bibinja ebirimu abaserikale ababaliddwa ne bawandiikibwa Yeyeli omuwandiisi omukulu, ne Maaseya omukungu, nga balabirirwa Hananiya, omu ku baami ba kabaka abaduumizi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Uzziya yalina eggye ery'abasajja abalwanyi, abaatabaalanga ebibiina n'ebibiina, ng'omuwendo gw'okubalibwa kwabwe bwe gwali Yeyeri omuwandiisi gwe yabala, ne Maaseya omwami wansi w'omukono gwa Kananiya omu ku baami ba kabaka.