2 Chronicles 26:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakulu b'ennyumba z'abatabaazi eza bajjajjaabwe baali awamu enkumi bbiri mu lukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwendo gwonna awamu ogw’abakulu b’ennyumba ez’abasajja abalwanyi gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuwendo gwonna ogw'abakulu be ennyumba za bakitaabwe, abasajja ab'amaanyi era abazira, gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwendo gwonna ogw'abakulu b'ennyumba, abasajja ab'amaanyi era abazira gwali enkumi bbiri mu lukaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuwendo gwonna ogw'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, gwali enkumi bbiri mu lukaaga.