2 Chronicles 26:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo nga be batwala eggye lyonna ery'abantu obusiriivu obusatu mu akasanvu mu ebitaano, abeetegefu okugenda ku lutalo okutaasa kabaka abalabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be baaduumiranga eggye ery’abasajja abatendeke mu kulwana, abaawera emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu ebikumi bitaano (307,500), abaakuumanga kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bano be bakuliranga eggye ly'abasirikale emitwalo asatu mu kasanvu mu bitaano (307,500), abaasobolanga okulwana n'amaanyi, okuyambanga kabaka okulwanyisa abalabe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano baakuliranga eggye ly'abaserikale emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu bitaano, abaasobolanga okulwana n'amaanyi amangi, okuyamba kabaka okulwanyisa abalabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era wansi w'omukono gwabwe ne waba eggye eryayigirizibwa, obusiriivu busatu mu kasanvu mu bitaano, abaalwananga n'obuyinza bungi nnyo, okuyambanga kabaka eri abalabe.